Amawulire
Abakozi ba Gavt bakwanja ebyóbugagga byabwe
Bya Kevin G.
Ekitongole kya kaliisoliiso wa gavumenti kyolekedde okutongoza omulimu gw’okulangirira enyingiza, n’eby’obugagga bya abakulembeze b’ebyobufuzi n’abakozi ba gavumenti mu kibuga Lira nga March 1st, 2023.
Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku Uganda Media Center mu Kampala, Betty Kamya alabudde abakozi ba gavumenti ku kuwa amawulire agóbulimba agakwata ku byobuggaga byabwe kuba kimenya amateeka.
Agamba nti ebikolwa ng’ebyo bigenda kusikiriza ebibonerezo omuli okusasula engassi, okugobwa ku mirimu, okubowa eby’obugagga ebyafunibwa mu ngeri emenya amateeka, n’okugaanibwa okubeera mu ofiisi ya gavumenti okumala emyaka kkumi.