Amawulire
Abakozi balemereddwa okukyusa obukulembeze
Bya Moses Ndaye,
Wabaddewo katembe ku kitebe ky’ekibiina ekigatta ebibiina by’abakozi mu gwanga ki National Organisation of Trade Unions (NOTU), olukiiko bwelulemereddwa okuleeta ekiteeso ekigoba omuteesi teesi w’ekibiina omukulu mu offisi.
Ensisinkano eno yayitiddwa ng’ekimu ku bigendererwa eky’okujja Secretary General mu office wabula elinnya ly’omuntu gwebabadde baleese okumuddira mu bigere nagana okutwala obuvunanyizibwa obubadde butikiddwa.
Ssawandiisi Christopher Werikhe bamulaga kwekomya obifo ebisuka mu kimu okuli eky’omubaka mu Parliament ate nga Sebawandiisi ekikontana ne Semateeka.
Wabula ng’ayogerera mu nsisinkano, omubaka Werikhe ategeezezza nga bweyasalawo edda okuwaayo offisi wadde nga kino abadde takikola nga mu butongole.
Kino kiwalirizza Sentebe wa NOTU Wilson Were okwongezaayo olukiiko akaseera akatali kagere.