Amawulire

Abakozi basabiddwa okweyune Kkooti yébyóbusuubuzi

Abakozi basabiddwa okweyune Kkooti yébyóbusuubuzi

Ivan Ssenabulya

January 5th, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu,

Ababaka ba Parliament abakola ku nsonga z’abakozi basabye abakozi okukozesa embuga ezitaawula ensonga zaabwe webaba bafunye okusomooza ng’ekkubo eky’okuzisalira amagezi.

Ababaka bagamba nti wadde nga emisango egitannawulirwa mingi, kino kibadde kivudde ku butono bw’abalamuzi nga negimu gitutte ebbanga eritakka wansi wa myaka 7 ekibadde kyongedde okumalamu abo abalina okwemulugunya essuubi oba nga balifuna okumurwa.

Kati Omubaka w’abakozi mu Parliament Abdul Byakatonda agamba nti akageri embuga kebajongodde ku balamuzi, ennamula yakweyongera ku misinde kwetambulira.

Omubaka era ayagala Gavumenti okwongera okusomesa abantu ku buvunanyizibwa bwa Court eno ekola ku nsonga z’abakozi bangi abalina okusomooza basobole okugyettanira.