Amawulire
Abakozi batabuse ku nsonga z’abasomesa
Ekibiina ekigatta ebibiina by’abakozi byonna mu ggwanga abakozi mu ggwanga kyegasse ku kibiina ekigatta abasomesa mu ggwanga okubanja obuwumbi 25 ezabaweebwa omukulembeze w’eggwanga ziyambe ebibiina byabwe eby’obwegassi.
Ekibiina kino kiwakanya eky’okuyia ensimbi zino mu kibiina ekiwozi ky’ensimbi ekya microfinance support center kubanga amagoba gandiba waggulu.
Ssabawandiisi w’ekibiina kino Usher Wilson Owere ategezezza nga bwebaalagaidde edda ababaka abakiikirira abakozi okutwala mu palamenti ekiteeso ky’okujja obwesige mu minisita w’ebyenjigiriza olw’okulemererwa okukola ku nsonga z’abasomesa bano .
Gavumenti y’asaba ennaku 90 okugonjoola ensonga z’abasomesa bano oluvanyuma lw’okutiisatiisa okwediima.