Amawulire

Abakozi mu ggaali y’omukka beediimye

Ali Mivule

June 26th, 2014

No comments

Akediimo k’abakozi ba kampuni y’eggaali y’omukka abasoba mu 700 kakyagenda maaso nga bemulugunya olwabanaabwe 3 abagobeddwa mungeri etamatiza.

 

 

RVR

Abakozi bano bagamba kaluma nywera yenna ava ku ndagaano ezabawebwa kampuni eno eya  Rift valley railways oluvanyuma lw’okugula ekitongole ky’eggali y’omukka ekya  Uganda railways corporation.

Nga bayita mu kibiina kyabwe ekibataba abakozi bano balumiriza abakulira kampuni eno obutateka mu nkola ebiri mu ndagaano zaabwe nga okusasula akasiimo kaabo  ababa bawumuziddwa ku mirimu.

Omuwandiisi w’ekibiina kino Victor Yenaro agamba ntie nsonga zino zibandadde nnyo era nga keekadde zikolebweeko

Bbo abamu ku bakozi era bemulugunya ku ngeri emirimu gya kampuni eno gyegitambulamu nga abamu bagamba ebyana by’eggaali zomukka byatundibwa dda.

Mungeri yeemu ssentebe w’ekibiina ekigatta ebibiina by’abakozi Usher Wilson Owere agamba ekizibu kya kampuni eno kinene n’okusinga abantu kyebalowoza nga kyetagisa gavumenti okuyingira mu nsonga eno.