Amawulire

Abakuba obutayimbwa bavunaanibwe

Ali Mivule

March 7th, 2014

No comments

bodabodas

Ssabawaabi wa gavumenti alagidde nti abasajja abana abagambibwa okukuba abantu obutayimbwa bavunaanibwe mu kooti enkulu
Abana bano nga bakulembeddwaamu Gofrey Lukwago balabiseeko mu maaso g’omulamuzi Juliet Hatanga nekikakasibwa nti okunonyereza kuwedde
Oludda oluwaabi lugamba nti mu kiro ky’ennaku z’omwezi 16 omwezi gw’okutaano ,abasajja bano nga basinziira e Bukoto babba pikipiki ku musajja gwebasooka okukuba akatayimbw an’awunga olwo nebatwaala kiwedde
Gwebabbako piki ye Denis Niwagaba
Basindikiddwa mu kkomera e Luzira bagira babeera eyo nga bwebalind akkooti enkulu okubawa olunaku lw’enawulirirako emisango gyaabwe