Amawulire

Abakugu banyonyodde ku kulinnya kwébbeeyi yé bintu

Abakugu banyonyodde ku kulinnya kwébbeeyi yé bintu

Ivan Ssenabulya

June 15th, 2022

No comments

Bya Moses Ndaye,

Abakugu mu byenfuna banyonyodde nti amateeka ku byenfuna agaliwo, tegayinza kugonjoola ekizbu kyokulinnya kwebbeyi yebintu.

Asad Lukwango, nga mukugu okuva ku kitongole kya KPMG-Uganda agambye nti ebizibu ebyaletebwa olutalo lwa Russia mu Ukraine nebirala ebyekuusa ku muggalo gwa ssneyiga omukambwe mu China bikosezza entambula yebyamaguzi.

Ono agambye nti ekituufu mpaawo Uganda kyeyinza kukola, okujjako okulinda okutuusa embeera lwenadda mu nteeko.

Mungeri bannabyanfuna balabudde ekitongole ekiwooza kyomusolo nti bolekedde okusanga okusomozebwa, okukunganya omusolo ogwobwesedde 27 nobuwumbi 300.

Minisita webyensimbi Matia Kasaija yagambye nti ku mbaliri eyobwesedde 48 nobuwumbi 100, obwesedde 27 nobuwumbi 300 zaakuva mu musolo.

Peter Kyambadde, okuva ku KPMG, agambye nti olwembeera yebyenfuna omusolo tegujja kuwera.