Amawulire

Abakugu beelarikiridde olwábalwadde ba Kkansa okwebalama obujanjabi

Abakugu beelarikiridde olwábalwadde ba Kkansa okwebalama obujanjabi

Ivan Ssenabulya

September 1st, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Abakugu mu bulwadde bwa kookolo beeraliikirivu olw’omuwendo gwabantu ababulina okwebalama ekyokugenda okufuna obujanjabi.

Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku Uganda media center, akulira okunoonyereza n’okutendeka mu Uganda Cancer Institute (UCI), Dr Nixon Niyonzima agamba nti ku Bannayuganda 33000 abazuulibwa nga balina kookolo buli mwaka abantu 7400 bokka bebatuuka ku muddwaliro lyabwe okufuna obujjanjabi nga bano bakola ebitundu 20 %.

Agambye nti kino kiviriddeko obulwadde buno okweyongera mu ggwanga kyokka nga UCI erina obusobozi bwonna okulabirira abalwadde.

Anyonyodde nti abalwadde ba kookolo bangi mu buvanjuba bwa Afrika ne Afrika okutwalira awamu abajja mu ggwanga lino okufuna obujjanjabi ate abano ne batajjumbira.

Niyonzima alaze ebimu ku biziyiza abalwadde okugenda okufuna eddagala nga mu bino mwe muli ssente z’okubalabirira, entambula okutuuka mu kifo awajjanjabirwa kkansa, okusosolwa mu bantu n’ebirala.

Okusinziira ku biwandiiko, abantu obukadde 10 mu nsi yonna bafa kookolo buli mwaka era 70% ku bafa bava mu mawanga amankuseere.

Mu Uganda abantu 21300 be bafa kkansa buli mwaka.