Amawulire

Abakukusa abantu- abawala bangi baluguddemu

Ali Mivule

July 1st, 2014

No comments

gals traffuicked

Ababadde bakukusa bannayuganda okubatwaala ebweru okukuba ekyeeyo ate nebabazza mu birala poliisi ebawenja

Bano bategerekese nga Yunusu SSemakula n’omulala ategerekeseeko erya Katongole nga baliko omuwala gwebatwaala mu United Arab Emirates nebamusuula eyo era n’atulugunyizibwa bya nsusso

Omuwala ono yasobola okudduka gyebaali bamutulugunyiza era bweyatuuse kwekuwaaba

Omuwala ono attotola byeyayitamu ebitaali byangu.

Bino bibadde biri biti ate nezireeta amawulire g’abawala bannayuganda abasoba mu 100 abakwatibwa mu ggwanga lya Kuwait.

Kiddiridde bazadde b’abawala bano okwemulugunya ku bawala baabwe abamaze ebbanga nga tebalabikako.

Atwala poliisi erwanyisa okukusa abantu, Moses Binoga agamba nti bakuwandiikira gavumenti ya Kuwait ku nsonga eno.

Twogeddeko n’abazadde bano babadde mu nnaku enzibu ng’abasinga bagamba nti baakoma dda okuwuliza abaana baabwe