Amawulire

Abakulembeze basabiddwa okukoppa enjigiriza yómugenzi Ssaabasumba Lwanga

Abakulembeze basabiddwa okukoppa enjigiriza yómugenzi Ssaabasumba Lwanga

Ivan Ssenabulya

September 5th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Abakulembeze b’eddiini n’ebannabyabufuzi basabiddwa okukoppa okubuulira kw’omugenzi eyali Ssaabasumba w’ekelezia y’Abasodokisi mu Uganda metropolitan Yonna Lwanga okulaba nga wabaawo emirembe n’okukuuma eddembe ly’obuntu mu ggwanga.

Omugenzi Lwanga yafa nga 5th Sept 2021, olwaleero ekelezia etegese okujjukira omugenzi ku kitebe e Namungona, mukujjukira obulamu bwe,wansi w’Omulamwa: omwoyo gwa Katonda Gutuwa amaanyi okulangirira n’okutumbula Eddembe n’Obwenkanya mu nsi.

Akulira abasodokisi mu ggwanga Metropolitan Leronymos Muzeeyi akulembeddemu okusaba kuno ku ekelezia e Namungona ategeezezza nti omugenzi Lwanga yali mukulembeze mugolokofu eyayogeranga amazima eri abóbuyinza, emirundi mingi ne kigendererwa eky’okuyamba abantu be okufuna bwenkanya n’eddembe ly’obuntu.

Muzeeyi agasseeko nti abakulembeze tebalina kutuula mu bifo byabwe eky’obukulembeze ng’okutyoboola eddembe ly’obuntu n’ebikolwa ebibi bikolebwa ku bantu ba Katonda.

Mungeri yemu Eklezia y’Abasodokisi mu Uganda eyagala olunaku lwa 5th September lufuulibwe lunaku lukulu nga bajjukira Omugenzi eyali Ssaabasumba w’ekelezia y’Abasodokisi, Metropolitan Yona Lwanga.

Bwabadde ayogerako eri ekibiina, Theodore Ssekikubo nga ye sentebe wa kakiiko ke byenkulakulana mu ekelezia eno, ategeezezza nti omugenzi Ssaabasumba Lwanga yayimusanga eddoboozi lye ku lwobulungi bweggwanga kale kikulu okusiimibwa mu ggwanga lyonna.

Ssekikubo ategeezezza nti amadiini mu Uganda galina ennaku ezenjawulo ezaafuulibwa ennaku enkulu nga Janan Luwum day eri aba protestant, Martyrs day eri abakatoliki n’endala, bwekityo nolwa 5th September lusaana okuweebwa abasodokisi.

Ayogedde nti mu bbanga ttono ensonga ye wakugitwala mu Palamenti.