Amawulire
Abakulembeze bénnono basabiddwa okuyambako Gavt mu kulwanyisa obutabanguko
Bya Mike Sebalu,
Minisita w’ekikula ky’abantu, abakozi n’enkulaakulana y’embeera z’abantu Betty Amongi asabye abakulembeze b’ebyobuwangwa okwegatta ne gavumenti mu kulwanyisa obutabanguko obweyongedde ku bakyala n’abawala okwetoloola Ggwanga.
Okusinziira ku Amongi, ebikolwa eby’obulabe ng’okufumbiza abaana abato, embuto z’abavubuka n’okukomola abakyala mu mbugo bikyaliwo mu ggwanga.
Okwogera bino abadde mu kutongoza entekateeka y’akakiiko ka bakulembeze abennono aka Council of Traditional Leaders of Africa (COTLA) mu Kampala.