Amawulire
Abakulembeze mu buvanjuba bwa Africa basisinkana leero mu Kampala
Bya Juliet Nalwooga,
Abakulembeze b’amawanga ne baminisita abawerako okuva mu mawanga g’obuvanjuba n’emujjembe lya Afrika boolekedde okutuula mu Kampala okutandika olwaleero okutuusa ku Lwokutaano nga July 29th okukubaganya ebirowoozo ku nkola eyokukolera awamu n’engeri y’okukwatamu enkyukakyuka mumbeera y’obudde.
Olukiiko luno welugidde nga beetegekera olutuula olw’omulundi ogwa 27 olw’ebibiina ku nkyukakyuka y’obudde olugenda okubeera e Misiri okuva nga 7 okutuuka nga 18 November 2022.
Olukungaana luno olw’ennaku ssatu lugenda kuteeka essira kubutonde bw’ensi, abatambuzze, n’enkyukakyuka mu mbeera yóbudde lugenderera okumanyisa abantu ku ngeri enkyukakyuka y’obudde n’okwonooneka kw’obutonde bw’ensi gye bikwata ku ntambula y’abantu.
Ekyeya eky’amaanyi kyaviiriddeko dda abantu abawera okufa mu Somalia, Ethiopia, Kenya, Djibouti ne wano mu Uganda mu bitundu bye Karamoja.