Amawulire
Abakyala abagambibwa okuba abatujju bayimbuddwa
Abakyala babiri abagambibwa okuyambako abatujju ba Alshabaab okulumba Uganda omwaka oguwedde bayimbuddwa
Ssabawaabi wa gavumenti Michael Chibita y’abajjeeko emisango ng’agamba nti tekyagulabamu kantu
Mu ssabawaabi abitadde mu bbaluwa eriko ennaku z’omwezi 15th January 2015 ereeteddwa mu kkooti enkya ya leero.
Yasimin Abdullahi Adenne Hodan Ahmed Dahir bonna batuuze mu kisenyi
Kati abavunanaibwa basigadde munaana nga baggulwaako misango gyakuyamba ku batujju n’okubeera aba Alshabaab.
Omulamuzi w’eddaala erisooka ku kkooti ya Buganda road, Pamela Ocaya kati omusango agwongezezzaayo okutuuka nga 2 omwezi ogujja.
Kiddiridde munnamateeka wa gavumenti Edward Muhummuza okutegeeza kkooti nti okunonyereza kukyagenda mu maaso.