Amawulire

Abakyala baboolebwa mu Buyindi

Ali Mivule

November 10th, 2014

No comments

Indians

Mu ggwanga lya Buyindi amaloboozi agasaba nti abakyala bongerwe okuyambibwa nga bali mu nsonga zaabwe geyongedde

Mu ggwanga lya Buyindi, abakyala baboolebwa nga bali mu nsonga era nga tebakkirizibwa kufumba yadde okugenda mu masinzizo

Ababbaboola bagamba nti mu nnaku zino omukyala abeera mujama, mulwadde era ng’abaako n’ebisiraani.

Beebamu bano bagamba nti omukyala ali mu nsonga tebalina kunaaba era nga balina okulekebwa batonnye okutuuka nga bavuddemu ku nsonga

Kino kiviiriddeko abakyala okwekweka nga bali mu nsonga.

Kati abalwanirira eddembe ly’abantu bagamba nti kirina kikoma okukoma.