Amawulire
Abakyala bakutulugunyizibwa
Ababaka ba parliament abakyala abeegattira mu kibiina kyabwe ekya Uganda Women’s Parliamentary Association UWOPA bavuddeyo tebategeeza ng’ebikolwa eby’okutulugunya abakyala wamu n’abaana mu maka bwebyeyongedde mu ggwanga nga kino kivudde ku mateeka ga musibya byayi ageetaga okukyusaamu.
Abakyala bano abakulembeddwamu Mariam Nalubega babadde batalaaga ebitundu bya katonga nga kino kyekikola disitulikiti essatu okuli Gomba, Mpigi ne Butambala nga basomesa abakulembeze ku ngeri gyebayinza okukwataganyiza awamu nabo mu kulwanyisa ebikolwa bino.
Ababaka bano bagamba nti omuwendo guno okulinnya kivudde ku ngeri gavumenti gy’ekuttemu ensonga y’okutulugunyizibwa mu ngeri ey’ekigayaavu.
Okusinziira ku kunoonyereza okukukoleddwa ekibiina kino abakyala abaweza ebitundu 59% batulugunyizibwa mu maka songa gwo omuwendo gwabasajja abatulugunyizibwa abakyala kati gutuuse ku bitundu 15%.
Bbo abakulembeze abeetabye mu musomo guno balaze okusoomozebwa gavumenti kw’erina okulaba nga ebikolwa ebyokutulunya abakyala kikomezebwa.