Amawulire
Abakyala bawagidde kkooti ku Nsenga
Oluvanyuma lwa kkooti okukaliga omukyala Jacqueline Uwera Nsenga , ebibiina ebirwanirira eddembe ly’abakyala ebyenjawulo bivuddeyo okusiima kkooti olw’ekibonerezo kino.
Omukyala Regina Bafaki nga ono y’akulira ekibiina ekya ACFODE agambye nti kino ekibonerezo kyabade kisaana ku muntu ng’ono, kuba kigenda kuwa abalala eky’okuyiga obutenyigira mu bikolwa nga bino
Kinajjukirwa nti akawungeezi akayise, Nsenga yakaligiddwa emyaka 20 , oluvanyuma lwa kkooti okukkakasa nti mu butuufu yatta bba.
Era mu ngeri yeemu ,Poliisi esabidwa okwongera okuteeka amaanyi mu kunoonyereza ku ttemu erigenda mu maaso eryekuusa ku bukuubagano mu maka.
Okusaba kukoleddwa ssentebe w’akakiiko akataba ababaka ba palamenti abakyala abakulira Betty Amongi.
Amongi ategeezeza nti ekibonerezo ekyaweereddwa Nsenga kimusana kubanga kyakoleddwako okunonyereza okumalira ddala.
Amongi agambye nti emisango egy’ekikula kino kumpi giweza ebitundu 10% gyegyanoonyerezebwako mu mwaka 2012 -2013 , kale nga poliisi esaana eyongere amaanyi mu kunoonyereza okw’ekika kino