Amawulire
Abakyala bawakanyiza ekyókubaliyisa ku baana bebaasiba abasajja
Bya Prossy Kisakye,
Akakiiko ke ggwanga akakola kunsonga za bakyala aka Uganda National Women Council kagaanye ekiteeso kyababaka ba palamenti abaagala abakyala bawalirizibbwe okuliyirira abasajja n’ensimbi zebaba basaasaanyiza mu kukuza abaana abatali babwe
Kino kidiridde omuwendo gwa basajja abatwala abaana okukeberebwa endaga butonde, bakakase oba bebabazaalira ddala okweyongera kyokka ebisinga okuvaamu biraga nti abaana tebaba babwe
Faridah Kibowa Ssentebe w’olukiiko lw’abakyala agamba nti abasajja ababa bafunira abakyala abo embutto ne batalabirira baana babwe bebalina okuliwa ensimbi ezo sisi bakyala.