Amawulire

Abakyala bawakanyizza okujulula ensawo yaabwe

Abakyala bawakanyizza okujulula ensawo yaabwe

Ivan Ssenabulya

March 14th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Olukiiko lwabakyala mu gwanga olwa, National Women Council bawakanyizza ekiteeso okujulula ensawo yabakyala eya Uganda Women Entrepreneurship Program okuva mu minisitule yekikula kyabantu okudda mu minisitule yebyensimbi.

Ensawo no yatandikibwawo mu mwaka gwebyensimbi 2015/16, nga ntekateeka ya gavumenti eyalubirirra okusitula embeera zabakyaala okuyita mu kubawagira nensimbi bakole.

Kati ssentebbe owolukiiko lwabakyala mu gwanga, Hajjat Faridah Kimbowa agambye nti bingi ebitukiddwako ngensawo eno eri wansi wa minisitule yekikula kyabantu, akelnga tebasubira nti enasigala eddukanyizbwa bulungi nga kino agambye nti kyakugotaanya emirimu.

Olunnaku lwe ggulo ababaka ba poalamenti abakyala, wansi wkeibiina ekibagatta, Uganda Women Parliamentary Association (UWOPA) nabo bawakanyizza entekateeka eno, eyokujulula ensawo kyabakyala.