Amawulire

Abalala babanja byaabwe

Ali Mivule

May 20th, 2014

No comments

Mumbere 2

Obusinga bw’ e Rwenzururu bwegasse ku bukulembeze bwennono obwenjawulo obubanja ebintu byabwo.

Omusinga  Charles Wesley Mumbere mu kawefube ono alonze akakiiko k’abantu 7 nga kakulembeddwamu  Rev. Can. Nason Baluku okuteseganya ne gavumenti ku ky’okudizibwa ebintu byabwe .

Wabula Mumbere agamba nti ebimu ku byebabanja ate obukama bwa Tooro bwabyediza.

Awadde ekyokulabirako nga ekirombe kye Kilembe, enyanja ye Katwe omusimwa omunyo ,ekuumiro ly’ebisolo erya ,Queen Elizabeth National Park n’ekolero lya seminti erya  Hima Cement nga baagala obusinga bwebuba buliyirirwa mu kifo ky’obukama bwe Tooro.

Mumbere atadde Akaka nti  nti abatooro basaanye okukimanya nti District yeb Kasese eryali essaza lyabwe lyabava dda mu ngalo nga kati liri wansi wa bukulembeze bwa nnono bulala kale nga ebisangibwamu babyesonyiwe.