Amawulire
Abalamazi 4 okuva e Kenya bafiiridde mu kabenje e Mayuge
Bya Yazid Yolisigira
Abalamazi 4 ababadde batuuse e Mayuge okuva mu ggwanga elya Kenya bafiiridde mu kabenje ku luguddo oluva e Iganga okudda e Jinja.
Abalamazi abalala 4 bebasimatuse ne bisago ebyamaanyi ku kabenje ke kemotoka akagudde ku kyalo bugodi oluvanyuma lwomugoba wa taxi okulemererwa okusiba nabasabala.
Akulira ebya traffic e Magamaga police station Beatrice Apiny, atubulidde nti taxi reg. no. UBD 680W esse abalamazi 4 okubadde Joselyn Wanjala, Sarah Ajambo, Pelivin Malinde ne Geofrey Ogaga.
Apiny, agamba nti bano bebamu ku balamazi okuva e Kenya ababadde batambulira mu kibinja kya bantu 100 nga basimbula okuva mu Kenya nga 15th omwezi guno nga kati babadde batuuse e Mayuge.