Amawulire
Abalamazi bakubirizibwa okunyweza okukkiriza kwabwe
Bya Moses Ndaye ne Prossy Kisakye,
Omulabirizi wa Ankole diocese Rt Rev. Sheldon Mwesigwa asabye abakristaayo okweyambisa okulamaga kwomulundi guno okuzza obugya okukkiriza kwabwe.
Ono agambye nti abajjulizi balaga okwewaayo kungi nómukwano eri katonda ne bakkiriza okufiiririra eddiini nga basanye okuyigirwako.
Omulabirizi Mwesigwa okwogera bino abadde akwasibwa obuyambi bwa bukadde 10 eza Uganda okuva mu kampuni ya Mtn-Uganda okuyambako mu kutegeka okulamaga kwomulundi guno ku ludda olwa bakristaayo.
Olunaku lwa bajjulizi lukuzibwa buli nga 3rd June lwe lunaku lwenkya era okusinzira ku bategesi basuubira abalamazi bomulundi guno okutuuka ku bantu obukadde 3
Ekitongole Kya Red cross ekivunanyizibwa kukuwa obujjajabi obusokerwako kikakasiza nti abalamazi bonna abakatuuka e Namugongo bali mu mbeera nnungi oluvanyuma lw’okubekebenja ne baweebwa nobujjajabi bwebetaaga.
Okusinzira ku Serugo Osbert nga ye manager wa Red cross mu division ya Kampala, agambye nti abalamazi abasinga batuuka balina obuvune ku magulu abalala nga balumwa omutwe nga bino bivudde ku kutambula engendo empavu ze batamanyidde naye nga bonna basobodde obawa obujanjabi.
Ategezeza nti tebanafunayo mulwadde muyi nga yetaaga ddwaliro ddene kubanga abalamazi bonna bebakafuna basobodde okubakolako era bali mumbeera nnungi.
Mungeri yemu Osbert alabudde abalamazi okubeera abengedereza enyo eri obulamu bwabwe nga bewala okumala galya buli kyebasanze kubanga ebyokulya ebimu si birungi eri obulamu bwabwe.