Amawulire

Abalamazi batandise okutuuka

Ali Mivule

May 26th, 2014

No comments

Namugongo shrines

Abalamazi abasoba mu 100 beebamaze okutuuka e Namugongo ng’ebula ennaku ntono olunaku lwa bajulizi lutuuke

Akola ku nsonga z’abajulizi ku kiggwa e Namugongo, Father Joseph Muwonge agamba nti mu bazze mwemubadde n’abatambuzza ebigere okuva e Rwanda

Abalala bavudde Bushenyi, Masaka, ne Nebbi.

Father Muwonge agamba nti bakolagana ne poliisi okulaba nti abalamazi babeera mu mbeera entebenkevu okutuukira ddala ku bujaguzo by’olunaku

Buli lwa nga 3 omwezi gw’omukaaga, abakulisitu okwetoloola ensi yonna bakuza olunaku lw’abajulizi abattibwa olw’okukkiriza

E mubende ekibinja ky’abalamazi 300 basimbudde okuva mu kigo e Kasambya okwolekera Namugongo.

Bano beebamu kwabo abagenda okwetaba kumalaga  agagenda okubaawo  ssabiiti egya.