Amawulire

Abalamazi okuva e Fortpotal basimbudde

Abalamazi okuva e Fortpotal basimbudde

Ivan Ssenabulya

May 23rd, 2022

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Abalamazi abali mu 1000 basimbudde olwaleero okuva e Fort-Portal okwolekera Namugongo ku kiggwa kyabajulizi.

Bano basimbuddwa omulabirizi Robert Muhirwa ku ssaawa 9, oluvanyuma lwa mmisa yakawungeezi.

Omwogezi wakakiiko akategeka okulamaga kwomwaka guno mu ssaza lye Fort Portal Stephen Alinaitwe agambye nti baakoze buli ekyetagisa kulwokutambula obulungi okutuuka e Namugongo.

Okusinziira ku Alinaitwe, bakawandiika abalamazi 500 okuva mu bisomesa 20 ngomuwendo gusuubirwa okulinnya okutuuka ku 1000 webunazibira.

Bano era bajja kwegattibwako abalamazi okuva e Kasese, nga basubirwa okutuuka e Kampala nga 31 May ku nkomerero yomwezi guno.

Mungeri yeemu, bano bajja kwegatibwako abalamazi okuva e Masaka nga 28 May mu wiiki ejja.

Bbo abalamazi okuva mu ssaza lye Lira abali mu 400, abasimbula wiiki ewedde bakyali mu lugendo olwa KM 300.