Amawulire
Abalamazi okuva e Insingiro bakonkomalidde ku Katonga
Bya Getrude Mutyaba,
Abalamazi okuva mu Kigo kye Kakoma mu disitulikiti ye Isingiro abawerera ddala 75 bakonkolamidde ku mugga Katonga oluvannyuma lw’okusanga nga tebalina webayita.
Bano bagamba bavudde ku Kigo e Lukaya nga bolekera Mitala Maria nga balowooza waliwo ab’ebigere webayita wabula kibabuuseeko okusanga ekkubo nga liteereddwamu emisanvu nga mpaawo akkirizibwa kujiyitako.
Abalamazi betusanze nga bagalamidde mu luguudo bagamba nti tebakyayinza kuddamu kudda mabega olw’olugendo olunene gyebavudde nga baakulinda okutuusa nga gavumenti etereezezza olutindo lwa Katonga.
Eyakuliramu abalamazi okuva e Isingiro John Kabiraho, agamba nti mu kiseera kino basanze okusomozebwa kwa maanyi nga tebamanyi kyebazaako mu budde buno nga kati tebalina bya kulya wadde okunywa.
Abatuuze abaliranye omugga Katonga nabo batubuulidde embeera
gyebayitamu nebasaba abalamazi bayambibwe mu bwangu.
Sabiiti ewedde Minisita avunaanyizibwa ku by’entambula General Katumba Wamala, yategeeza nti bagenda kukola ekisoboka okulaba nga mu nnaku ttaano zokka, bateekawo omuwaatwa abalamazi saako n’abebidduka ebitono bafuna webayita.