Amawulire
Abalamazi okuva e Jinja abasoba mu 6000 batuuse ku kiggwa kyábakatoliki e Namugongo
Bya basasi baffe,
Ekibinja kyábalamazi abasoba mu 6000, abagenda okukulemberamu emikolo ekyokujaguza abajjulizi ba Uganda, ku biggwa bya bajjulizi oludda olwa bakatoliki e Namugongo, abéssaza lye Jinja batuuse munfo.
Bano nga bakulembedwamu omusumba Martin Lwamika,baasimbula ku lunaku lwa bbalaza nga batambulidde ennaku 3 mu kilo mita 79 okuva ku akelezia ya st Joseph rubaga e jinja, basoose kuwumulirako ku somero lya st. Elijah e seta webavudde okugenda e Namugongo.
Abalamazi bano bogeddeko nómusasi waffe Ali Mivule nga basanyufu bitya era basuubira bingi ebyókufuna
Abatesitesi ku kiggo kya St. Paul Catholic Parish e Mukono, bakowodde abakristu yonna gyebali okwongera okubaddukirira n’obuyambi okusoboola okuliisa abalamazi abawumulira mu kiifo kino nga tebanaba kweyongerayo Namugongo.
Bano nga bakulembeddwa Ssabakristu w’ekiifo kino Julius Kabiito, bagamba nti omuwendo gwebabalirira gwayisemu dda nga kati besanga nga balina okukozesa emmeere nnyingi okusoboola okuliisa buli muntu.
Bano bagamba nti baali basubira abantu ng’emitwalo 30,000 okuva mu bitundu bye Buvanjuba (Eastern) nti naye okutebereza kwabwe kubalagira ddala ng’omuwendo guno gwakusuukamu era nga kati eby’okulya bitandiise okuberalikiriza.
Newankubadde guuli gutyo bbo abalamazi bamalirivvu okutambula okutukira ddaala ku kiggwa ky’abajulizi e Namugongo wamu ne Nakiyanja era ebyetago byabwe babitubulidde.