Amawulire
Abali mu byembaawo baweereddwa ebiragiro ebigya
Bya Benjamin Jumbe,
Ekitongole ekivunanyizibwa ku butonde bw’ensi mu ggwanga kifulumizza ebiragiro ebipya mu kaweefube w’okwongera okukuuma obutonde bw’ensi n’okuzzaawo ebibira mu ggwanga.
Okusinziira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa olwaleero, okusaba okukkiriza amakolero agakola embaawo kijja kugetaagisa okuba n’obukakafu obulaga nti wa gyebagya emiti gyebakolamu embaawo.
Okusinzira kwakulira ekitongole kino, Dr Akankwasa Barirega, ebiragiro ebipya bigenderedwamu kunyweza mateeka mu kukuuma obutonde bwensi nókuzaawo ebibira mu ggwanga.