Amawulire

Abalimi ba Vanilla babanja tekinologiya

Abalimi ba Vanilla babanja tekinologiya

Ivan Ssenabulya

April 5th, 2022

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Abalimi ba Vanilla mu disitulikiti ye Mukono basabye gavumenti okulowooza ku nkola eza tekinologiya, eziyinza okukozesebwa okulwanyisa obubbi bwekirime kino ku nnimiro.

Okusaba kuno wekujidde ngobubbi bwa vanilla omuto bungi mu bitundu byegwanga ebyenjawulo, ekiviriddeko abalimi okukoleranga mu kufiirwa.

Amawanga nga Madagascar bakozesa, tekinologiya nga bateeka serial number ku birime naddala mu nimiro zemizabobu nebasobola okulondoola nebyuma bi kalimagezi.

Ssentebbe wa Mukono Vanilla Association, Lotan Ssejja agambyenti abalimi bangi babadde babivuddemu olwembeera gyebakoleramu, naye kino era kyekijja nokubasikiriza okuddamu okulima.

Agambye nti vanilla kyalikirime kyamaanyi mu byenfuna byegwanga era kyakola nnyo okukyusa embeera zabantu mu masekati ga Uganda, era asabye gavumenti nobwakabaka bwa Buganda okutekamu amaanyi okukitumbula nga bwebakoze ku kirime kyemwanyi.