Amawulire
Abalina Typhoid beeyongedde
Omuwendo gw’abalwadde b’omusujja gwomubyenda ogwa Typhoid gweyongedde wano mu Kampala.
Ab’ebyobulamu okuva ku ddwaliro lya Kisenyi Health center 4 bategezezza nga bwebaafunye abalwadde abasoba mu 400 nga bateberezebwa okubeera ne typhoid.
Akulira eby’obulamu mu KCCA Dr. David Sserukka agamba kati abantu abasoba mu 2300 bebalina ekirwadde kino mu Kampala.
Dr.Serukka agamba okuva bwekiri nti omusujja guno gweyongedde amanyi, kati buli gwebasanga n’akabonero konna ak’omusujja guno batandikirawo okumuteeka ku bujanjabi.
Agamba osanga banasobola okutuula ekirwadde kino ku nfete ekyeyongera amanyi buli lukya.