Amawulire

Abalumbye Kyegegwa bandiba aba ADF

Ali Mivule

June 30th, 2014

No comments

Kyegegwa attack

Poliisi mu disitulikiti ye  kyegegwa ekwataganye n’amaggye okwongera okunonyereza ku bigambibwa nti abantu abaakoze obulumbaganyi mu kitundu kino bandiba nga balina akakwate ku bayeekera ba ADF.

Wiiki ewedde ekibinja ky’abavubuka nga bambalidde agajambiya n’emmundu baalumbye e kkanisa y’abalokole eya Mungumwema nebatta abantu 2 okwabadde n’omusirikale wa poliisi.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga  Fred Enanga agamba nti okunonyereza kulaga nga bwewaliwo ekibinja ky’abayisiraamu abaagala okufuula ekitundu kino ekitambulira ku mateeka g’ekiyisiramu nga bazze balumba ebitundu ebitali bimu.

Mungeri yeemu amaggye gategezezza nga embeera bweyazze dda munteeko mu kitundu kino nga abajaasi ba UPDF batwalaganyizza abalumbaganyi bano okutuuka ku nsalo eyawula Uganda ne Congo.

Omwogezi w’amaggye g’eggwanga mu bitundu bye Rwenzori  Lt .Ninsiima Rwemijuma agamba  nti kati abantu bazze dda mu maka gaabwe gebaabadde baddusemu olw’obulumbaganyi buno.