Amawulire

Abalwadde ba COVID-19 abappya 559 bebazuliiddwa

Abalwadde ba COVID-19 abappya 559 bebazuliiddwa

Ivan Ssenabulya

July 9th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Minisitule yebyobulamu eriko abalwadde ba ssneyiga omukambwe abappya befunye 559 nabantu 29 abaafudde, ng’ebibalo bino byavudde mu kwekebejja okwakoleddwa nga 7 July 2021.

Kati ebibalo ebyawamu, biraga nti Uganda erina abalwadde emitwalo 8 mu 6,140 nabakafa awamu 2,062.

Ebibalo era ebivudde mu minisitule biraga nti emitwalo 5 mu 9,495 bebakawona, atenga wetwogerera abalwadde basigadde 996 mu gwanga lyonna.

 

Abalwadde abappya baavudde mu disitulikiti ye Kitgum, Bukedea, Amuru, Kasese, Mbale, Mukono, Buikwe nendala.

 

Wabula okusinziira ku bibalo ebifulumye, wabaddewo okudirir mu miwendo gyabalwadde, 43 okuva ku balwadde 602 abappya abalangiriddwa olunnaku lweggulo.