Amawulire
Abalwadde basenguddwa e Mulago-emirimu gisanyaladde
Emirimu gisanyaladde ku ddwaliro e Mulago ng’eddwaliro litandika okuddabirizibwa
Abalwadde bonna ababadde mu waadi 1 1A, 2 A, 3 A, 4A, 5 A ne 6A basenguddwa okudda ku kizimbe okuli B ne C.
N’awatuukira abayi ( casualty ) nawo bakyusiddwa nga kati abalwadde batuukira mu waadi 2B
Mu kino, abalwadde bangi n’ababalabirira basigadde bemagazza
Omwogezi w’eddwaliro lye Mulago Enock Kusaasira agamba nti babadde tebasobola kwebeera kutatagaanya bantu kubanga ate babadde tebasobola kuggalawo ddwaliro nga liddabirizibwa
Ono wabula agamba nti bakakafu nti kebanaamala okusengula abalwadde, ebinti bijja kutereera
Eddwaliro lino ligenda kulongoosebwa okussibwaamu ebyuuma eby’omulembe ku bukadde bwa doola 73 nga zino zeewoleddwa okuva mu banka ya African Development Bank n’ensawo emanyiddwa Nigerian Trust Fund.
Ne banka y’ensi yonna ekwasizzaako Uganda mu mulimu guno