Amawulire

Abalwanirira eddembe lyábakyala basabye palamenti kutteeka

Abalwanirira eddembe lyábakyala basabye palamenti kutteeka

Ivan Ssenabulya

December 12th, 2022

No comments

Bya Juleit Nalwooga,

Bannakyewa abalwanilira eddembe lyabakyala wansi w’ekitongongole ki Uganda Women Network (UWONET) basabye Parliament okwanguwako okukubaganya ebilowoozo ku baggo elikwata ku kikula kya bantu gyebuvuddeko elyakomesebwawo eri Parliament.

Rita Aciro nga y’akulira UWONET, agamba nti ebikorwa ebitulugunya abakyaala naddala mu by’omukwano bikosa abakyala n’abaana ab’obuwala mu ngeri ya kimugunyu .

Balowooza nti ebbago elyakazibwako Sexual Offenses Bill 2019 singa linabeera liyisiddwa, lyandiyambako okunogera ekizibu kino edaggala.

Okwogera bino babadde beefumitiriza ku nakku e 16 ez’okunga abantu okubaako kyebakola okutaakiriza ebikorwa eby’obutanguko mu maka.

Mu mweezi gw’omunaana mu 2021, President Museveni yagaana okuteeka omukono ku baggo lino, nalikomyawo eri Parliament okubaako obuwaayiro bwobongera okutereeza.