Amawulire

Abalwanirira obukuumi bwókuluguudo baliko byebasabye Gavt

Abalwanirira obukuumi bwókuluguudo baliko byebasabye Gavt

Ivan Ssenabulya

August 14th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Omukago ogutaba ebitongole by’obwanakyewa ebitakabanira enkozesa y’enguudo ennungi ogwa Road Safety Advocacy Coalition Uganda, gwagala government eddemu yeetegereze obukugu obukozesebwa mu kuzimba enguudo, enkola y’emirimu gya police mu kukwasisa amateeka, n’obukugu bwabanonyereza ku bubenje nti byaliba nga byebimu ku bikyasibye obubenje okweyongera mu ggwanga.

Kinajjukirwa nti government gyebuvuddeko okuyita mu minister w’ebyamawulire Dr. Chris Baryomunsi, yalangirira nti baakuggula emisango gy’obutemu, ku bagoba b’emmotoka ezikola obubenje obuviirako abalala okufa, ng’emu ku nkola ez’okukendeeza obubenje mu ggwanga.

Mungeri yeemu , gavumenti yalangiridde nti yaakuzaawo enkola eya kawunyemu okukwatirako abavuga ebidduka nga batamidde, okwewala obubenje ku makubo, newankubadde enkola eno nayo yali yagyibwawo mu kiseera kya Covid 19 olwokutya okusasanya obulwadde.

Suzan Tumuhairwe, okuva mu kitongole kya Safeway – Right way, agamba nti kyenyamiza okulaba nti newankubade okumanyisa abantu, kukoleddwa ku nkozesa y’enguudo, abagoba beebidduka bakyakola ensobi ezekyeyononero eziviirako abakozesa enguudo okufa.

Alipoota ya police ey’omwaka 2021 ku bubenje ku makubo, yalaga nti abantu 1,290 bebaafiira mu bubenje bwa Boda-boda songa omuwendo guno mu 2022 gweyongera okutuuka kubantu 1,404.

Bannakyewa basazeewo okutandika okuwandiika n’okukunganya ebikwata ku bubenje obwenjawulo nekibuleeta, okuteekawo amateeka n’obusobozi bw’okuddusa abantu mu malwaliro nga bakozesa Ambulance ezirimu ebikozesebwa, nokuteeka abakugu abayambako mu kuduukirira obubenje ku makubo.