Amawulire
Abalwanirizi béby’obulamu beeralikirivu
Bya Moses Ndaye,
Abalwanirizi b’eddembe ly’ebyobulamu balaze obweralikirivu olw’eddagala eriweweeza ku kawuka ka siriimu okugwawo mu ggwanga.
Bano nga bakulembeddwamu ekitongole kya Uganda Network on Law, Ethics and HIV/AID baagala minisitule y’ebyobulamu enyonyole kunsonga eno.
Akulira okubunyisa amawulire n’obukodyo mu kibiina kino, Immaculate Owomugisha, agamba nti okumala emyezi mukaaga egiyise wabaddewo ebbula lyeddagala eriweebwa abalwadde ba siriimu abali ku mutendera ogwokusatu ekireeseewo okutya mu bantu
wabula dayirekita omukulu avunaanyizibwa ku by’obulamu mu minisitule y’ebyobulamu Henry Mwebesa, asambaze ebyogerwa ng’agamba nti si bya mazima.
Asabye bannakyewa obutatabula bannauganda wabula bogere amalwaliro genyini eddagala gyelitali litwalibweeyo