Amawulire
Abalwanirizi béddembe basabye Gavt okuyimbula abasibe abakwatibwa kunsonga zébyóbufuzi
Bya Prossy Kisakye,
Abalwanirizi b’eddembe baagala gavumenti enyweze amateeka agali mu ssemateeka bwekituuka ku ddembe ly’abateeberezebwa okuba abazzi bémisango.
Omulanga guno gujjidde mu kiseera nga Bannayuganda abalina abantu babwe abakwatiddwa ne basibibwa okumala ebbanga nga tebawozesebwa mu kkooti balajaana.
Ne mukiseera kino pulezidenti wa NEED Joseph Kabuleta yakwatibwa asibibbwa gyebuvuddeko ku misango gy’okutumbula obusosoze mu mawanga.
Mu lukung’aana lwa bannamawulire olutegekeddwa ab’oludda oluvuganya gavumenti olwa National Economic Empowerment Dialogue-NEED, omukwanirizi we ddembe era eyaliko minisita w’empisa n’obutebenkevu, Miria Matembe, n’eyaliko omumyuka wa kaliisoliiso wa gavumenti, Wasswa Lule, balaze obwennyamivu eri gavumenti gy’ebaweerezaamu nga bwetakoze kimala okunoonyereza ku kuwambibwa, n’okukwatibwa n’okusibibwa kwa Bannayuganda ebigenda mu maaso awatali kugoberedde mateeka.
Matembe asabye gavumenti efube okulaba ng’abantu bonna abakwatibwa okuviira ddala mu kulonda kwa bonna okwa 2021 bayimbulwa oba okuleetebwa mu kkooti bwe baba balina omusango gwe balina okwanukula.
Ono era avumiridde eky’okugaana ababaka ba palamenti Mohamed Ssegirinya ne Allan Ssewanyana okweyimirirwa nga bamaze kumpi emyaka ebiri ku limanda.