Amawulire
Abalwanirizi béddembe lyábakyala bavumiridde abategesi ba Elgon Cultural Gala
Bya Prossy Kisakye,
Abalwanirizi béddembe lya bakyala balabudde bannauganda okukomya okwerimbika mu byóbuwangwa okumenya amateeka
Kino kidiridde akatambi ka vidiyo akalaze abaana abobuwala nga kumpi bali bukunya bwebadde mu mweleso gwe byóbuwangwa ogwa Elgon cultural gala e Mbale nga amabeere gali bweru bagasizeko langi ne bitundu byabwe ebirala ebyómubiri nga tebisabikiddwa bulungi
Mu katambi kano abawala bano babadde bali mu kuzina mazina agebyobuwangwa nga bali mu kyebayise omwoleso.
Nankulu wekibiina omwegatira ababaka ba palamenti abakyala ekya UWOPA, Mary Harriet Lamunu, bwabadde ayogerako ne bannamawulire mu lukungana olwategekeddwa ekibiina ekirwanirira eddembe lya bakyala mu ggwanga ekya UWONET, olugenderedde okutumbula abakyala abali mu kyobukulembeze mu Kampala, avumiridde ekikolwa kino.
Agambye nti ekyokwanika abaana abawala nga amabeere gali bweru kyabadde kikolwa kyabuswavu era ekiweebula abakyala naddala mu kiseera kino nga eggwanga lilwanagana ne mizze omuli okusobya, okukwata abaana n’abakazi, okufunisa abaana abatanetuka embuto nókubafumbiza.
Mungeri yemu eyaliko minisita akwasisa empisa nóbuntu bulamu, Miria Matembe asabye ssabapoliisi okulondoola ensonga eno abategesi bómukolo guno bonna bakwatibwe era bavunanibwe.