Amawulire
Abalwanyisa enguzi batabukidde Amama Mbabazi
Eby’eyali ssabaminisita w’eggwanga bikyalanda.
Abalwanyisa obuli bw’enguzi mu ggwanga baagala okunonyereza ku misango gyonna egy’obulyake egyali mu ofiisi ya Ssabaminisita ekiseera Amama Mbabazi kyabadde ssabaminisita.
Bano bagamba nti ekisanja kya Mbabazi nga ssabaminisita kifumbekeddemu obuli n’enguzi n’obulyake kale nga okunonyereza kwetagisa.
Bano bajukizza obuwumbi obusoba mu 200 ezaali ez’okuddukirira abaakosebwa olutalo mu bukiika kkono bw’eggwanga ezabulankana, obukadde 160 mu minisitule y’abakozi ssaako n’ezobugaali ezaali eyo mu buwumbi 5.
Akulira ekibiina kya Anti-corruption coalition Uganda nga kino kilwanyisa buli bwanguzi , Cissy Kagaba agamba ssente zino zonna tezizuulibwanga nga ate okunonyereza tekwaggwa.
Kagaba agamba ekisanja kya Mbabazi nga ssabaminisita kibaddemu emivuyo kale nga amudidde mu bigere tasaanye kukwata kkubo lyerimu.
Mungeri yeemu Peter Wandera ow’ekibiina kya transparency international agamba ssabaminisita omuggya Dr Ruhakana Rugunda alina okuwa embalirira k nsaasanya y’ensimbi y’omuwi w’omusolo.