Amawulire

Abalya enguzi bakangavvulwe

Ali Mivule

December 4th, 2014

No comments

Gidud

Amyuka akulira  kkooti ewulira emisango gy’abakenuzi , omulamzi  Lawrence Gidudu ,ategezezza nga eky’okukyuusa obukyusa abalamuzi ababa balidde enguzi bwekitamala wabula basaana okukangavvulwa.

Nga ayogerera mu lukungaana lw’okulwanyisa enguzi, Gidudu ategezezza nga kino bwekijja okwewaza abalamuzi abalala okulya enguzi, ssinga bala abanaabwe nga bakangavvulwa.

Gidudu era ayagala abawandiisi ba kkooti bonna bambale yunifoomu okusobola okumalawo abefuula abakola mu kkooti nebazza emisango , kyagambye nti kitatanye ekifaananyi ky’essiga eddamuzi .

Agamba era y’ensonga lwaki bategese olunaku lw’okutabagana, wakati wa kkooti ewozesa abalyake n’abantu baabulijjo nga 15 December okumumunyamumunya mu nsonga ezenjawulo .

Muungeri yeemu Kaliisoliiso wa gavumenti Irene Mulyagonja asabye abalamuzi bonna okusookanga okunonyereza obulunji  ku misango gyebaba mu mitambo ,okwewala okusalira abantu ebibonerezo ebitabasaana.