Amawulire
Abamasomero góbwannanyini bawakanyiza ebisale gavt byeyabagerekedde
Bya Damali Mukhaye,
Bannannyini masomero agóbwannannyini okwetoloola eggwanga bagaanye engereka yókulungamya bisale mu masomero gonna mu Uganda nga tennaba kuyisibwa kabineti.
Bwabadde ayogerako mu lukung’aana lwa bannamawulire, ssentebe w’ekibiina ekigatta abasomesa mu masomero agóbwannannyini mu ggwanga, Hasadu Kirabira agamba nti enkola eno bagiwakanya kubanga si ya bwenkanya.
Okusinziira ku Hasadu, yadde nga amasomero agobwannayini agayambwako gavumenti gaweebwayo ensimbi ezibayamba okugaddukanya si bwekiri mu ago ogobwannanyini nga balina okusasula emisolo, okusimba ne bintu ebirara ebyetaaga ensimbi.
Agambye nti okuva agamu ku masomero gano agali ku ludda lwa gavumenti bwe gasasula ssente z’amasomero nnyingi okusinga amasomero agamu ag’obwannannyini ze gasasula, okulungamya ebisale by’amasomero gaabwe sikya bwenkanya eri bannannyini masomero.
Era alaga nti enkola eno ekontana ne kya gavumenti okuleka ebitongole ebirala omuli ebyobulamu amalwaliro gyegasabira obulindo bwensimbi abalwadde awatali agakuba ku mukono ne bitongole ebirala ebisaba ensimbi enyingi okuva mu bannauganda naye nga byo tebikonedwako