Amawulire

Abamu babusabuusa ebyokuwummula kwa Gen Muhoozi

Abamu babusabuusa ebyokuwummula kwa Gen Muhoozi

Ivan Ssenabulya

March 9th, 2022

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Abagoberera nokwtegereza ensonga zebyobufuzi, babusabuusa obanga ddala emboozi yokuwummula kwa Lt Gen Muhoozi Kainerugaba okuva mu magye kyekimu ku byebaali balubirirdde edda mu Muhoozi project eyayogerwako.

Emyaka 10 emabega kino kyayogerwako, bangi nebakikolokota nti pulezidenti Museveni ayagala kusikiza mutabani we ku bukulembeze.

Olunnaku lweggulo Muhoozi yayise ku mukutu gwe ogwa twitter, nalangirira nga bwagenda okuwummula okuva mu magye, oluvanyuma lwokuwereza emyaka 28.

Kati bwabadde ayogerako naffe ssnekulu wekitongole kya Great Lakes Institute for Strategic Studies (GLISS), Godber Tumushabe agambye nti abusabuusa obanga ddala pulezidenti Museveni asobola okuta Entebbe nalakere aobuyinza abalala.

Agabye nti kano kandibeera era akazannyo, oba okukasuka ejinja mu kisaka okulaba ekiva mu bantu.

Godber agambye nti okuwummula kwa Muhoozi kulina kusalibwawo magye, okusinziira ku tteeka lyamagye erya UPDF Act, 2005.

Agambye nti tewali mujaasi alina buyinza kwesalirawo obanga anyuka oba nedda

Bino webijidde nga waliwo abajaasi abaali basaba edda okunyuka nebaganibwa okuli Gen David Sejusa.