Amawulire

Abanonyi bóbubudamo okuva e Congo bongedde okukwatibwa Covid

Abanonyi bóbubudamo okuva e Congo bongedde okukwatibwa Covid

Ivan Ssenabulya

June 16th, 2022

No comments

Bya Robert Muhereza

Abóbuyinza mu disitulikiti eyé Kisoro beelalikirivu olwomuwendo gwa banonyi bobubudamo okuva mu DRC abakwatibwa akawuka ka covid-19 mu kambi eye Nyakabande.

Bino okubaawo ngokulwanagana wakati wa bayekera ba M23 námaggye ga gavt kugenda mu maaso mu kibuga kye Bunagana.

Omubaka wa gavt e Kisoro Hajji Shafiq Sekandi era nga ye sentebe wa kakiiko akalwanyisa ekirwadde kya covid obutasasaanira mu bantu, atubuulidde nti abanonyi bobudamo 78 bebakazuulibwamu obulwadde.

Hajji Sekandi alaze obwetaavu obwokutekawo ekifo ekigazi okusobola okwawula bonna abateberezebwa okuba ne kirwadde.

Amyuka akulira ebyobulamu mu disitulikiti eno Annet Dusabe anyonyodde nti bukya banonyi bobudamo bayingira eggwanga mu mwezi ogwo kusatu, abakafuna abantu 100 kubbo nga balina covid yadde nga tebaba bubi