Amawulire
abantu 103 bebafiiridde mu bubenje bwókunguudo
Bya Juliet Nalwooga,
Poliisi etegezezza ngabantu 103 bwebafiridde mu bubenje bwoku nguudo, mu wiiki eyanga 1 okutukira ddala nga 7 May.
Bwabadde ayogera ne bannamwulire ku kitebbe kya poliisi e Naguru, omwogezi wa poliisi yebidduka e Faridah NampiIma agambye nti obubenje 398 bwebwaguddewo ngabantu 295 bebalumiziddwa.
Agambye nti abaafudde kyavudde ku musaayi omungi ogwabavuddemu, olwebisago ebyamaanyi byebfunye.
Obubenje agambye buneyezebwa ku kuvugisa kimama nendiima.
Kati alabudde ba dereva bavuge nobwegndereza era bagoberere amateeka, nenguudo ezibalambikirwa.