Amawulire
Abantu 4 bafiridde mu kabenje kulw’eMasaka
Bya Sadat Mbogo
Abantu 4 baakakakasidwa nti bebafiridde mu kabenje akagudde e Nakirebe, ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka mu district y’e Mpigi.
Akabenje kano kaguddewo amakyala ga leero, nga kigambibwa nti Taxi 2 emu ebadde eva Mpigi okudda e Kampala nnamba UAT 108/V etomereganye bwenyi ne Drone namba UBH 517/E,
ebadde eva e Kampala okudda e Masaka.
Taxi ebaddemu abantu 3, nga bafiriddewo okubadde n’omugoba waayo ategerekeseeko erya Pastor Mpagi atenga mu Drone temuli afudde.
Wabula akabenje kekamu, katebiddwamu bodaboda 3, ngomu ku bagoba naye afudde.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Katonga Lydia Tumushabe akakasizza akabenje kano n’asubiza nti bagenda kunonyereza okuzuula ekivuddeko akabenje kano.