Amawulire

Abantu 4 bebafiridde mu kabenje e Mubende

Abantu 4 bebafiridde mu kabenje e Mubende

Ivan Ssenabulya

March 3rd, 2022

No comments

Bya Barbra Nalweyiso

Poliisi mu disitulikiti ye Mubende etandise okunonyereza kabenje, akiriddemu abantu 4, mmotoka kika kya FUSO nnamba UAY 196/F gyekozeemu akabenje.

Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu kitundu kya Wamala Rachel Kawala agambye nti mmotoka eno ebadde yetisse basubuzi nabatembeeyi, ngakabenje kabaddewo mu kiro ekikeseza olwaleero ku luguudo oluva e Mubende okudda e Kakumiro.

Mmotoka eno ebadde ekubyeko akabindo kebintu nabantu wabula eremeredde omugoba waayo, negwaekigwo abantu 4 nebalugulamu obulamu, 18 nebabuuka nebisago.

Abafudde kuliko ategerekeseeko erya Nakibuka, Yasinta Katushabe, Harriet nategerekeseeko erya Ssembatya.

Emirambo gino neba kawonawo batwaliddwa mu ddwaliro ekkulu e Mubende gyebafunira obujanjabi.

Poliisi etegezezza nga bwetandise omuyiggo ku mugoba wemmotoka eno, kankano aliira ku nsiko.