Amawulire
Abantu 5 bebakwatiddwa ku by’okutta munnamateeka
Bya Ivan Ssenabulya
Poliisi e Kisoro eriko abantu 5 begalidde nga kigambibwa nti bamanyi ku butemu obekolebwa ku munamateeka Isaac Sendegeya, abazigu gwebakuba amasasi ku Lwomukaaga lwa wiiki ewedde.
Abakwate kuliko Sikola Nyiramajambere, Issah Mvano ne Asuman Tito nga bonna batuuze mu gombolola ye Muramba.
Kigambibwa nti omugenzi abadde aliko omuntu gwawolereza mu kooti, ngabakwate bebamuwawabira.
Abalala kuliko Hadija Niyijena ne Mutesi abatuuze mu kabuga ke Bunagana.
Omwogezi wa poliisi e Kigezi Eli Matte agambye nti bano baakuyambako mu kunonyereza.