Amawulire

Abantu 60 bebaafiiridde mu bubenje mu ssabiiti ewedde

Abantu 60 bebaafiiridde mu bubenje mu ssabiiti ewedde

Ivan Ssenabulya

August 8th, 2022

No comments

Bya Juliet Nalwooga,

Ekitongole kya poliisi ye bidduka kizudde nti abantu 60 be baafiiridde mu bubenje ku nguudo mu wiiki ewedde.

Bw’abadde ayogera eri bannamawulire ku kitebe kya poliisi e Naguru, omwogezi wekitongole kino,  Faridah Nampiima, agambye nti buno bwavudde ku bubenje 314 obwawandiisibwa wiiki ewedde nga ku buno 55 bwali bamaanyi nyo.

Abakosebbwa abasoba mu 270 ate abamenyi b’amateeka abasoba mu 84,000 ne bakwatibwa.

Nampiima agambye nti omuwendo gw’obubenje obungi okusinga bwakolebwa abavuzi ba boda boda n’abavuzi ba takisi era nga bwava kukuvugisa kimama n’okukozesa ebiragalalagala.