Amawulire
Abantu 7 bafiridde mu kabenje e Bukomansimbi
Bya Gertrude Mutyaba,
Abantu 7 bebakakakasiddwa okuba nga bafiiridde mu kabenje ke mmotoka, ekika kya FUSO nnamba UAX 226U bweganye okusiba negwa mu kiwonko ku luguudo oluva e Masaka okudda e Ssembabule.
Akabenje kano kaguddewo nga zolekera okuwera esaawa munaana, nga kagudde ku kyalo Kanoni mu gombolola ye Butenga mu district ye Bukomansimbi ku luguudo oluva e Masaka okudda e Ssembabule.
Kigambibwa nti emmotoka ebadde etisse abasuubuzi okuva e Masaka nga boolekera mu katale e Bukomansimbi akabeerawo buli lwa Mukaaga.
Ssentebe w’ekyalo Kanoni Martin Katende atubuulidde nti bangi ku bantu bamenyesemenyese amagulu, emikono,abalala emitwe gikutuseeko .
Poliisi y’e Bukomansimbi nga edduumirwa Christine Namawuba ezze awagudde akabenje era netandika okugyawo abalumiddwa nga baddusibwa mu ddwaliro e Villa Maria.