Amawulire

Abantu 77 baferebwako obukadde bwénsimbi 11 e Jinja

Abantu 77 baferebwako obukadde bwénsimbi 11 e Jinja

Ivan Ssenabulya

February 16th, 2023

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Abantu 77 e Jinja bakaaba twawa nga ntulege oluvanyuma lw’okusasula sente okufuna emirimu gy’empewo.

Omwogezi wa poliisi mu bitundu by’e Kiira, James Mubi agambye nti abaakosebwa bebatute okwemulugunya kwabwe ku poliisi.

Anyonyodde nti abaakosebwa buli omu yali yasasula Shs150,000 nga ssente z’okwewandiisa eri omukwanaganya w’ekibiina ekijingirire ekitali kya gavumenti ekyategeerekeseeko erya Canfata of afflicted information era ono poliisi emutaddeko obunyogoga.

Ono yalibba abantu nga bwagenda okubawa emirimu egyokukola nga abakwanaganya emirimu gye kitongole ekitali kiwandiise mu mateeka mbu bagabire abazadde basale za baana mu byalo nokubayambako mu byendya.

Mubi agamba nti ssente ezisoba mu bukadde 11 zikakasiddwa nti zaggyibwa ku bantu bano.