Amawulire
Abantu 9 bafiiridde mu kabenje akagudde e Kinoni
Bya Juliet Nalwooga,
Abantu mwenda bafiiridde mu kabenje akagudde ku luguudo okuva e masaka okudda e Mbarara.
Akabenje kano kagudde Kaganda okwolekera olutobazzi lw’e Kyojja e Kinoni mu disitulikiti yé Lwengo.
Kigambibwa nti mmotoka ekika kya Mercedes Benz Actros trailer reg no RAF 168S/RL 1426 okuva e Masaka ng’eyolekera Mbarara yayabise omupiira, ddereeva nemulemerera n’etomera e mmotoka endala reg no UBJ 084N Toyota hiace ne Mark II UAP 126A okuva ku ludda olulala okukakana nga abantu 9 bafuuse embuya ezikaza ebikuunta.
Omwogezi wa poliisi y’ebidduka Faridah Nampiima, agamba nti abantu 12 abaalumiziddwa baddusiddwa e Masaka mu ddwaliro okufuna obujjanjabi obusookerwako,
Getwakafuna galaga nti nabadde mu mbeera embi tasobodde kulwanirira bulamu afudde.