Amawulire
Abantu bataano bandiba nga bafiiride mu kabenje
Agatanakakasibwa gooleka nga abantu abasoba mu 5 bwebandiba nga abafiiride mu kabenje , nga akagudewo akawungeezi ka leero okumpi n’omugga kafu.
Bus e kozze akabenje ya company Baby Coach Services number UAP 908V nga eno ebade eva e juba okudda mu Uganda.
Abeerabideko n’agabwe batutegeezeza nti bus eno okukola akabenje ,ebade egezaako okuyisinganya n’ebimotoka ebinene 2 ebibade bidda e juba mu south sudan.